Baliwa abakyala ba luno?
Abasiiba baziwenja okufa
Abatakkiriza kusigala mabega
Baliwa ba maama ba kati?
Abamanyi kye balina okukola
Nga tebakkiriza kubakookonya, eh eh
Bw’ogayaala ku mulembe guno
Abalala ng’ebintu bayiga
Ng’enkola yaabyo bagikuguka, eh eh!
Ebikozesebwa nga bafuna
Nga bamanya negyebisangibwa
Obasisinkana nga weewunya, eh eh!
Twasalawo ffe twasalawo
Baggalawo nga tuggulawo
Okwerumya anti kwaggwawo
Ne ssente tuzirina
N’abaami tubarina
Ate oba otujoogera wa?
Tulina okugenda nagwo (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
Tewali kukaddiwa leero (omulembe omulembe)
Tokkiriza kukuleka (tokkiriza tokkiriza)
Tulina okunyirira ffenna (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
Bw’osumagira abaana beetala
Bw’ogayaala ng’obudde budduka
Eno time ya technology, eh eh
Laba n’omwami wo musembeze
Muzuukuse bwaba nga yeebase
Ategeere nti ssaawa mbaya
Guno omulembe gwa kulabika bulungi teri kumogoka
Atannafuna ogire ofune
N’obufumbo buba bunyuma
Nga munno wo akutunuulira
N’akugamba nga tokaddiwa ah
Twasalawo ffe twasalawo
Baggalawo nga tuggulawo
Okwerumya anti kwaggwawo
Ne ssente tuzirina
N’abaami tubalina
Ate oba otujoogera wa?
Tulina okugenda nagwo (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
Tewali kukaddiwa leero (omulembe omulembe)
Tokkiriza kukuleka (tokkiriza tokkiriza)
Tulina okunyirira ffenna (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
Kaakati nze bampita Diana
Diana ye music commander
Simbula eŋŋoma tugende todda
Teri kudda teri
Oba oyagala kubeera ffala
Beerawo nga toyagala kukola
Onoosubwa eno endongo bw’ekuba eh eh!
Twasalawo ffe twasalawo
Baggalawo nga tuggulawo
Okwerumya anti kwaggwawo
Ne ssente tuzirina
N’abaami tubalina
Ate oba otujoogera wa?
Tulina okugenda nagwo (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
Tewali kukaddiwa leero (omulembe omulembe)
Tokkiriza kukuleka (tokkiriza tokkiriza)
Tulina okunyirira ffenna (omulembe omulembe)
Tokkiriza kusigala (tokkiriza tokkiriza)
About us • Our Twitter • Contact us • Privacy • Copyright ©Jams UG 2024