Omuzadde Tagulwa Lyrics by Mathias Walukagga

Posted on Oct 19, 2023
By Dj Sadam
  • Like us on Facebook:
  •      
108 Views

Lyrics

Mathias ssikyapakunkana nnyo na kugwa ku bifuyi
Ddunda y’aliba ageze ekiseera kyange
Bwatyo n’ansengula ku kawunga ka muwogo
N’andaza mu nsuku ezigudde akaleka
Nze era nsekerera abakeera wano ne beekanula
Bambi bakeera mu nkoko ne bannyulwa njuba
Enkomerero bafa ebicaayi bekkata bikalu!
Nze awo bye bya ntengudde ssikyekulussanya
Walukagga nkimanyi nti okufuna kiba kitone
Kale ne bw’olitabaala obuna abaganga
Okuggyako olwana ku kya bapindula mbuto
Naye nga ky’onoogabanayo byoya bya nswa
Oyo eyatonderwa okuba nti aliba mufunyi
Ssebo ne bw’alisuubula ezo tray z’amagi
Mmwe ebyo bye musiiba muwanuuza mbu ataafune
Nkukakasa olimusanga azimbye Muyenga
Kw’olwo lw’olitegeera entegeka za Mukama
Nti ataafune ne bw’omuwa akatale k’Owino
Bwe liba bbanga ddene emyaka kakibe ebiri
Olimusanga yeewola ngege ku midaala!
Nze mugenda kuntegeera bwemutyo mpolampola
Ddaaki n’eyankyawa muzze ku kifuba
Oh mumwebaze nnyini byonna okuntonera ekkula
Mbayiggire ebinyuma mwongere obuwagizi
Oyo Namuyimbwa w’Empindi ye mukadde nnyabo
Nze nava mu ntumbwe z’omusajja agwana ente
Ekirizanto Kisiriinya Buyondo
Ndi muzzukulu w’omugenzi Maawule e Kinyerere

Leero ekindeese nga mpunya bulangiti
Ninawo ensonga era mu nsonga k’ebe kabaka
Munnange ky’ekintu mikwano wano gye twalabye
Lwaki olwana gw’ofunye okugujaajaamya?
Mw’egyo gy’omanyi nokoddeyo wano ogukyakira
Gwe akyalina abazadde bo akwagala Ddunda
Osinga awumpuguma ng’ayita mizimu
Bambi bazadde be nga z’eziyita embuyaga
Nze abo nsisinkanye nkumu nga bafunye n’ennusu
Yesongodde obwamulekwa bwe bumwaziiranya
Omusanga ajula singa nti maama abaddewo
Bino ebirungi bye nfunye naye n’agaayaako
Gwe amulina omulanga ki okumulabya ennaku?
Emifaliso osula ku VitaFoam ne bbiya
Muzadde wo asula ku bideeya munda bya ssubi
N’akagoye akooza kiro kuba alina kamu
Wagagawadde yeeresanga akanyama ssebo
N’awuuta entula nga ne caayi anywa bikalu
Nga ky’amanyi bw’akaddiwa singa on’oyiga
Gwe olimuyamba nga Mwami Ndasi amuweddemu
Toliimu bwongo era mu bisolo nkuyise mbuzi
Kubanga yeewalira nga bagitwala ku ttale
Ani akutuusizza eyo ku kalombe k’ennusu?
Ye taata wo eyawa school fees n’ojunwa
Obusanyusa omuzadde wo buba butono ndaba
Kyokka ate ne sabbuuni amusaba wa Yubu
N’abo baliraanwa baamukoowa dda takyayala
Omunnyo gw’asiiba abapeeka olimba nnyo
Bakuwaanawaana oguze Benz Sempala
Mbu olina ne Tata ezisuubula amatooke eyo
Muzadde wo asaba akagaali ogenda e Nkozi
Oluusi bakamumma n’akuba akanuulo
Jjukira kitaawo y’eyali omu ku bafunampola
Kyokka yagwa ne ku mabanja aweerera embuzi
N’akolimanga nti okuzaala kwamufa bbule
Nze ab’engeri eyo aah mbeerako omugumba

Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!
Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!

Lwaki okyawa maama wo emyaka omale esatu?
N’atuma n’ababaka ogendeyo nga tommuka
N’ajja alwala ng’abamuwa obuyambi b’ebbali
Amagezi g’olina gwe n’enkoko ekusingako
Obukoko ojje obuggyeko enkulu ebuzaala
Aah ddala ogikweke n’eddakiika ziwere abiri
Oluvannyuma ogikomyewo mu buto ojja kulaba
Bwe bujaganya nga bulabye omuzadde waabwo
Bwonna ne bwetooloola okwaniriza ekkula
Lwakuba nti enseko z’enkoko nzibu za kulaba
N’ebyo ebisolo ebindi embuzi ssaako ne ppusi
Gwe alinamu amagezi obalese okupooca!
Ddala mu butuufu maamawo omufudde mulabe
Kyokka ate oli ku zi malaaya opokera nnusu
N’erinnya zaakutuumye dda erya Uncle Money
Linda lw’olibwatula nga zikugeyengula
Ng’olwo ofuuse mboozi mu birabo by’endigi
Ate ssinakindi n’obulwadde musse mukago
Laba bw’ojja owumpuguma ozungirira nnyini
Mbunno okomawo mu bazadde bo tokyali muntu
Nze kale yadde sirina nnyo lupiiya nkumu
Naye ako akatono ke nina kwe mpeereza mummy
Kambeere nga sirina mbalambula era
Bwe mbategeeza embeera baguma emyoyo
Ddala emyezi mwenda maama wo awanirira ebbuto!
N’omutuuza mu ddagala n’okunywa ebikaawa
N’ajja apeeruuka maama wange kufuuka kala
Bameka b’owulira gwe embuto abaziggyamu
Mbu Kafeero adaaga lwakuba nnyina takyalabwa
Era mbu yaalimulaze omukwano baaba
Baabuwe ne yeewunaganya akukaabya n’ezziga
Oluusi ne by’aba akola ssebo abivaako
Kale no omukwano gw’obuzadde gwe gukyakira
Gwe akyalina abazadde bo ago olina makula
Bw’oba nga tonanywa sukaali osooke daddy
N’ekikooyi kya mummy eyazaala n’alera

Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!
Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka bambi!

Singa osoma ebyawandiikibwa mu Vanjiri
Mu Quran ne Bibles ojja kulaba
Nti no oyo alitya muzadde we era yatya Mukama
Gwe abagyonyesa lw’olizaawa ojja kwokebwa
Abo abakyala b’oliko obazudde bukulu
Kale okukukyaya abakadde bo awo oteebye bbali
Bw’oba olumbye katale kusuubula ngoye
Laba bw’owunze oleese ffene muvundu!
Nze kale bannyumiza mbu nga nkyali ka baby
Nga nalwala mu ngeri eyasusse mu be wali olabye
Ng’era tewali alina na ssuubi nti naawona
Nze waliwo eyali angeseegese okuziŋŋama
Mungu bambi n’abayambako bwatyo mpolampola
Omanyi Lubaale mbeera ng’okanya n’enjala
Nassuuka naye nabaleka ddala sseke
Nga batunze buli ke baalina ntere mpone
Kale buli lwe nzijukira ebyo ndeka n’emmere
Ne ngula ka sukaali n’eryo eggaati eddene
Ezo engege zoomu Lwera ntwala ssatu
Kko n’ennyama ensava ne balya ne badimbuka
Naye okuggyako ow’obwongo nga bwajjula super
Bw’ozaala n’osuumuusa ojaagaana nnyini
Gwe ataaziŋŋamako oba okufuuka kiwaya
Aah walirowoozezza omwana bw’atawaanya
Gwe Sserunjogi ogulangayo ka kiro k’embuzi
Bambi n’omutwalira omukadde wo Ssemakula
N’oyo Nalukwago gwe wafambisa entegetege
Bwotakola ekyo ng’entasiimwa ye mukwano gwo
Naawe akyalina abazadde bo eyo y’enkola
Abantu bangi abakulidde mu gazibu enjolo
N’akula n’abuuza bakadde be nga z’empewo
Nga baafa n’alaba bifaananyi
Bangi bafiira mu kuzaala n’aleka baby
Ne kataloza ku buwoomi bw’ebbeere obukyakira
Bambi ke kato ne bakapiika amata mu nkopo
Gwe no alabye ku bazadde bo ddala oli mu ggulu

Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!
Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!

Ddala ekitiibwa kyo kigudde mu bitaka Jimmy
Olw’okusanga maama wo Beyane Nantume
N’ajja akuyita okugenda gyali ne wekweka
Ate bw’osooka omulaba n’oweta amakoona
Yadde kabi nnyo ng’era kampi baaba ka mbaliga
Ke kaakuzaala omuzadde nedda tagulwa
Tokwatibwa nsonyi kukyatula nti oyo mummy
Nti oba ye taata gwe nasimbuka mu ntumbwe
Gwe ssebo oli wa kitalo naye omuzadde y’ensulo
Naawe alwanyisa abasajja mukadde Hadija
Oyo akuswaza gw’otya n’okulaga mu banno bo
Ye yazaala gwe atemya ng’ebimyanso
Mbaagaliza okukwata bye njogedde ba ssebo
Ne ba nnyabo ate ekindi okubissa mu nkola
Ngya kudda n’ebbaasa z’ebirabo nga njolo
Nkomawo wiikendi ŋenze mu bakadde eka
Mbaagaliza okukwata bye njogedde ba ssebo
Ne ba nnyabo ate ekindi okubissa mu nkola
Ngya kudda n’ebbaasa z’ebirabo nga njolo
Nkomawo wiikendi ŋenze mu bakadde eka

Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!
Omuzadde tagulwa
Ne bw’aba wa malibu
Y’oyo gw’olina ge makula go
Tokwatibwa nsonyi ng’omulaga mu banno
Gwe ate oliggya wa omundi?
Gwotafune mu dduuka!

Click to Install Blizz Radio App Here

Related Stories

Latest News

MOST POPULAR

NEW SONGS

Love Esusse
Love Esusse
Aidah Mugo

37 plays | 6 Downloads

Omwaka  Guno
Omwaka Guno
King Saha

100 plays | 19 Downloads

Face Down
Face Down
Josh EP

77 plays | 16 Downloads

Twajja Tumazeeko
Twajja Tumazeeko
Josh EP

85 plays | 14 Downloads

Leero
Leero
Fyno

77 plays | 12 Downloads

Ebiku
Ebiku
Chosen K

79 plays | 14 Downloads

Byakika
Byakika
Ring Rapper Ratata

69 plays | 11 Downloads

Mbaga
Mbaga
JimKay

65 plays | 15 Downloads

Omukwano Gunuma
Omukwano Gunuma
Jimkay

65 plays | 12 Downloads

Jela
Jela
Muvawala Content

64 plays | 12 Downloads

VIEW ALL

About usOur TwitterContact usPrivacy • Copyright ©Jams UG 2024

X